Engero Ensonge/ Luganda Proverbs
- Grace Lwanga
- Mar 20, 2015
- 1 min read
Welcome to my list of Luganda proverbs called “Engero Ensonge”. You can also find similar work produced by other bloggers. For example:
Dr. Daniel Kawuma
Kajubi James
Jowa's Engero Ensonge / Luganda Proverbs
Ababaka.com
WikiEducator discussion group.

Ekita ekitava ku sengejero kye “wankiindo”. Ekita ekitava ku sengejero ky’atika mangu. Bwebakitunga nga bakikazaako erya “wankiindo”. Olugero luno lutuyigiriza nti omuntu bwatava ku mikolo, ayinza okutuukibwako emitawana mingi.
Ebibuuka bitalaganye byebikubagana empawa. Olugero luno lutuyigiriza nti abantu okukola ekintu eky’awamu balina okusooka okukiteesaako.
Kyakula ndaba, abulwa gwazaalamu omwana. Olugero luno lutuyigiriza nti tonyooma Bantu osobole okubafunako ebirungi.
Kaggwa ensonyi nga omukazi awoza ne bba. Olugero luno lutuyigiriza nti abafumbo balina okweyisa obulungi buli jjo.
Akayaama amamera tekagololekeka, endeku bw’ojigolola emenyeka- bumenyesi. Olugero luno lutuyigiriza nti omwaana asana ayigirizibwe obuntu- bulamu nga akyaali muto.
Gwoyigiriza okuweesa akugobya nkaaga. Olugero luno lutuyigiriza nti ssi kirungi okunyooma omuntu gwoyigiriza, oluusi ayinza okukusinga.
Muddu awulira: yatabaaza engule yamukamawe. Olugero luno lutuyigiriza nti omuntu alina okuba omuwulize eri mukamawe okusobola okumufunako ebirungi.
Comments